Zabbuli 4
Ya mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.
Bwe nkukoowoola onnyanukule,
Ayi Katonda wange omutuukirivu.
Bwe mba mu nnaku, onnyambe.
Onkwatirwe ekisa owulire okusaba kwange.
 
Mmwe abaana b’abantu, mulituusa wa okuswazanga ekitiibwa kyange?
Mulituusa ddi okugoberera okwagala ebitaliimu, n’okunoonya eby’obulimba?
Naye mutegeere nga Mukama yeerondeddemu abo abamugondera.
Bwe nnaamukoowoolanga anampuliranga era anannyanukulanga.
 
Ne bwe munyiiga ennyo, temusaana kwonoona; musiriikirire,
mwekebere era mufumiitirize mu mitima gyammwe nga mugalamidde ku bitanda byammwe.
Muweeyo ebiweebwayo ebisaanidde;
era mwesigenga Mukama.
 
Waliwo bangi abasaba nti, “Oyongere okutulaga ebirungi, Ayi Mukama,
otumulisize omusana gw’amaaso go.”
Ondeetedde essanyu lingi mu mutima gwange
erisinga ne lye bafuna mu makungula nga batunuulira ku bibala byabwe ebingi.
 
Nnaagalamira ne nneebaka mirembe;
kubanga ggwe wekka, Ayi Mukama,
ggwe ondabirira akabi ne katantuukako.