9
1 Ekigambo kya Katonda kyolekedde ensi ya Kadulaki
era kirituuka e Ddamasiko.
Kubanga abantu bonna n’ebika byonna ebya Isirayiri
batunuulidde Mukama,
2 era ne Kamasi ekiriraanyeewo nakyo bwe kityo,
ne Ttuulo ne Sidoni wadde nga birina amagezi mangi.
3 Ttuulo kyezimbira ekigo
ne kituuma ffeeza n’eba ng’enfuufu,
ne zaabu n’eba nnyingi ng’ettaka ery’omu kkubo.
4 Laba, Mukama alikyambulako ebintu byakyo,
alizikiriza amaanyi gaakyo ag’oku nnyanja,
era kiryokebwa omuliro.
5 Asukulooni bino kiribiraba ne kitya;
ne Gaza bwe kityo kiribeera mu kulumwa okw’amaanyi.
Era n’essuubi lya Ekuloni liriggwaawo;
Gaza aliggyibwako kabaka we,
ne Asukulooni tekiribaamu bantu.
6 Abagwira balitwala Asudodi,
era n’amalala g’Abafirisuuti ndigamalawo.
7 Era ndiggya omusaayi mu kamwa ke
n’emmere ey’omuzizo okuva wakati mu mannyo ge.
N’abo bonna abalisigalawo mu kyo baliba bantu ba Katonda waffe,
balifuuka bakulembeze mu Yuda,
ne Ekuloni kiriba nga Abayebusi.
8 Naye ndirwanirira ennyumba yange
eri eggye eddumbaganyi,
so tewaliba mulumbaganyi aliddayo kujooga bantu bange
kubanga kaakano mbalabirira.
9 Sanyuka nnyo ggwe omuwala wa Sayuuni:
leekaana nnyo, ggwe omuwala wa Yerusaalemi;
laba, kabaka wo ajja gy’oli;
mutuukirivu era muwanguzi;
muwombeefu era yeebagadde endogoyi,
endogoyi ento, omwana gw’endogoyi.
10 Efulayimu ndimuggyako amagaali,
ne Yerusaalemi muggyeko embalaasi ennwanyi,
n’omutego gw’obusaale gulimenyebwa
era alireeta emirembe mu mawanga,
n’obufuzi bwe buliva ku nnyanja emu butuuke ku nnyanja endala
era buve ku mugga Fulaati butuuke ku nkomerero z’ensi.
11 Naawe ggwe, olw’omusaayi gw’endagaano gye nakola naawe,
ndisumulula abasibe bo okuva mu bunnya obutaliimu mazzi.
12 Mudde mu nkambi yammwe mmwe abasibe abalina essuubi;
nangirira leero nti ndibadizaawo emirundi ebiri.
13 Yuda ndigiweta ng’omutego ogw’obusaale
ngujjuze Efulayimu.
Ndiyimusa batabani ba Sayuuni,
balwane n’abaana bo, ggwe Buyonaani,
mbakozese ng’ekitala eky’omutabaazi.
14 Era Mukama alirabika ng’ali waggulu waabwe,
akasaale ke kamyanse ng’okumyansa kw’eggulu.
Mukama Katonda alifuuwa ekkondeere,
n’akumbira mu muyaga ogw’omu bukiikaddyo.
15 Mukama ow’Eggye alibakuuma.
Balirinnyirira ne bawangula envuumuulo,
balinywa ne baleekaana ng’abatamiivu.
Balijjula ng’ekibya ekikozesebwa okumansira ku nsonda z’ekyoto.
16 Ku lunaku olwo Mukama Katonda alirokola abantu be
ng’omusumba bw’alokola ekisibo ky’endiga ze.
Balitangalijja mu nsi ye,
ng’amayinja ag’omuwendo bwe gatemagana mu ngule.
17 Nga baliba balungi era abatuukirivu!
Emmere ey’empeke erireetera abavubuka abalenzi obulamu obweyagaza,
n’abawala nabo beeyagale olwa wayini omuggya.