6
Abemikwano 
 1 Muganzi wo alaze wa, 
ggwe akira abakyala bonna obulungi? 
Muganzi wo yakutte lya wa 
tumukunoonyezeeko? 
Omwagalwa 
 2 Muganzi wange aserengese mu nnimiro ye, 
mu misiri egy’ebirime ebyakaloosa, 
okulabirira ennimiro ye 
n’okunoga amalanga. 
 3 Muganzi wange, wange, nange ndi wuwe; 
anoonyeza mu malanga. 
Owoomukwano 
 4 Oli mubalagavu nga Tiruza,* Tiruza kyali kibuga kya dda mu Kanani ekyalondebwa Yerobowaamu mu 930-909 bc okuba ekibuga ekikulu eky’Obwakabaka bw’omu Bukiikakkono 
omwagalwa wange, omulungi nga Yerusaalemi, 
era ow’ekitiibwa ng’eggye eririna ebendera. 
 5 Tontunuulira nnyo 
kubanga amaaso go gantawanya. 
Enviiri zo ziri ng’ekisibo eky’embuzi, 
eziserengeta okuva e Gireyaadi. 
 6 Amannyo go gali ng’ekisibo eky’endiga 
eziva okunaazibwa; 
buli emu nnongo eri n’ennongo ginnaayo, 
so tewali eri yokka. 
 7 Obwenyi bwo bw’obisse mu lugoye, 
buli ng’ebitundu by’amakomamawanga. 
 8 Ne bwe walibeerawo bakabaka abakazi nkaaga, 
n’abazaana kinaana, 
n’abawala embeerera abatamanyiddwa muwendo, 
 9 ejjiba lyange, owange ataliiko bbala, ow’enjawulo, 
mwana muwala eyazaalibwa yekka, ayagalibwa ennyo nnyina 
okusinga abalala, y’ansingira mu bonna. 
Abawala baamulaba ne bamuyita wa mukisa; 
bakabaka abakazi n’abazaana baamutenda. 
Abemikwano 
 10 Ani ono alabika ng’emmambya, 
omulungi ng’omwezi, atangalijja ng’enjuba, 
alina ekitiibwa ng’eky’emunnyeenye? 
Owoomukwano 
 11 Naserengeta mu nnimiro ey’emiti egy’ensigo okwetegereza 
okumulisa okw’ebimera eby’omu kiwonvu, 
okulaba omuzabbibu obanga gwamulisa, 
n’okulaba emikomamawanga oba nga gyamera. 
 12 Bwe nnali nkyali awo 
emmeeme yange n’egenda eri amagaali ag’obwakabaka ag’omu bantu bange. 
Abemikwano 
 13 Komawo, Komawo, ggwe Omusulamu; 
komawo, komawo tukutunuleko. 
Owoomukwano 
Lwaki mutunuulira Omusulamu 
ng’abali ku mazina ga Makanayimu? 
*6:4 Tiruza kyali kibuga kya dda mu Kanani ekyalondebwa Yerobowaamu mu 930-909 bc okuba ekibuga ekikulu eky’Obwakabaka bw’omu Bukiikakkono