Zabbuli 135
1 Mutendereze Mukama.
Mutendereze erinnya lya Mukama.
Mumutendereze mmwe abaddu ba Mukama;
2 mmwe abaweereza mu nnyumba ya Mukama,
mu mpya z’ennyumba ya Katonda waffe.
3 Mutendereze Mukama, kubanga Mukama mulungi;
mutendereze erinnya lye kubanga ekyo kisanyusa.
4 Kubanga Mukama yeerondera Yakobo okuba owuwe;
ye Isirayiri gwe yeeroboza okuba eky’omuwendo.
5 Mmanyi nga Mukama mukulu wa kitiibwa,
era nga Mukama oyo y’asinga bakatonda bonna.
6 Mukama kyonna ky’asiima ky’akola,
mu ggulu ne ku nsi;
mu nnyanja ne mu buziba bwayo.
7 Alagira ebire ne byekuluumulula okuva ku nkomerero y’ensi;
atonnyesa enkuba erimu okumyansa,
n’asumulula empewo okuva mu mawanika ge.
8 Ye yakuba ababereberye ab’e Misiri;
ababereberye b’abantu n’ebibereberye by’ebisolo.
9 Ye yaweereza obubonero n’ebyewuunyo wakati wo, ggwe Misiri,
eri Falaawo n’abaweereza be bonna.
10 Ye yakuba amawanga amangi,
n’atta bakabaka ab’amaanyi era be bano,
11 Sikoni kabaka w’Abamoli,
ne Ogi kabaka w’e Basani
ne bakabaka bonna ab’e Kanani.
12 Ensi yaabwe n’agiwaayo ng’obusika,
okuba obusika bw’abantu be Isirayiri.
13 Ayi Mukama, erinnya lyo lya lubeerera,
era n’obukulu bwo bumanyibwa emirembe gyonna.
14 Kubanga Katonda aliggyako abantu be omusango,
era alisaasira abaweereza be.
15 Abamawanga ebifaananyi byonna ebyole bye basinza,
ebyakolebwa n’emikono gy’abantu mu ffeeza ne zaabu,
16 birina emimwa, naye tebyogera;
birina amaaso, naye tebiraba;
17 birina amatu naye tebiwulira;
so ne mu kamwa kaabyo temuyitamu mukka.
18 Ababikola balibifaanana;
na buli abyesiga alibifaanana.
19 Ayi ennyumba ya Isirayiri mutendereze Mukama;
mmwe ennyumba ya Alooni mutendereze Mukama.
20 Mmwe ennyumba ya Leevi mutendereze Mukama;
mmwe abatya Mukama mutendereze Mukama.
21 Mukama ali mu Sayuuni yeebazibwe;
yeebazibwe oyo abeera mu Yerusaalemi.
Mutendereze Mukama.