Zabbuli 123
Oluyimba nga balinnya amadaala.
1 Nnyimusa amaaso gange gy’oli,
Ayi ggwe atuula ku ntebe ey’obwakabaka mu ggulu.
2 Amaaso g’abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe;
n’amaaso g’omuweereza omukazi nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we* Mukama w’omuddu ne mugole w’omuddu omukazi baakozesanga bubonero okubaako kye bategeeza abaddu baabwe,
n’amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe,
okutuusa lw’alitusaasira.
3 Tusaasire, Ayi Mukama, tusaasire,
kubanga tunyoomeddwa nnyo ddala.
4 Emitima gyaffe gijjudde ennaku olw’okuduulirwa abo abeeyagala,
n’okunyoomebwa ab’amalala.
*Zabbuli 123:2 Mukama w’omuddu ne mugole w’omuddu omukazi baakozesanga bubonero okubaako kye bategeeza abaddu baabwe