Zabbuli 120
Oluyimba nga balinnya amadaala. 
 1 Nkoowoola Mukama nga ndi mu nnaku, 
era n’annyanukula. 
 2 Omponye, Ayi Mukama, 
emimwa egy’obulimba, 
n’olulimi olw’obukuusa. 
 3 Onooweebwa ki, 
era onookolebwa otya, ggwe olulimi olukuusa? 
 4 Onoofumitibwa n’obusaale obwogi obw’omulwanyi omuzira, 
n’oyokerwa ku manda ag’omuti entaseesa. 
 5 Ndabye ennaku, kubanga mbeera mu Meseki; 
nsula mu weema za Kedali! 
 6 Ndudde nnyo 
mu bantu abakyawa eddembe. 
 7 Nze njagala mirembe, 
naye bwe njogera bo baagala ntalo.