Zabbuli 81
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu.
1 Mumuyimbire nnyo n’essanyu Katonda amaanyi gaffe;
muyimuse waggulu amaloboozi gammwe eri Katonda wa Yakobo!
2 Mutandike okuyimba, mukube ebitaasa
n’ennanga evuga obulungi ey’enkoba awamu n’entongooli.
3 Mufuuwe eŋŋombe ng’omwezi gwakaboneka,
era mugifuuwe nga gwa ggabogabo, ku lunaku olw’embaga yaffe.
4 Ekyo kye kiragiro eri Isirayiri,
lye tteeka lya Katonda wa Yakobo.
5 Yaliteekera Yusufu,
Katonda bwe yalumba ensi ya Misiri;
gye nawulirira olulimi olwannema okutegeera.
6 “Nnamutikkula omugugu okuva ku kibegabega kye;
n’emikono gye ne ngiwummuza okusitula ebisero.
7 Mwankoowoola nga muli mu nnaku ne mbadduukirira ne mbawonya,
nabaanukulira mu kubwatuka mu kire;
ne mbagezesa ku mazzi ag’e Meriba.
8 Muwulire, mmwe abantu bange, nga mbalabula.
Singa onompuliriza, ggwe Isirayiri!
9 Temubeeranga na katonda mulala,
wadde okuvuunamira katonda omulala yenna.
10 Nze Mukama Katonda wo,
eyakuggya mu nsi y’e Misiri.
Yasamya akamwa ko, nange nnaakajjuza.
11 “Naye abantu bange tebampuliriza;
Isirayiri teyaŋŋondera.
12 Nange ne mbawaayo eri obujeemu bw’omutima gwabwe,
okugoberera ebyo bye baagala.
13 “Singa abantu bange bampuliriza;
singa Isirayiri agondera ebiragiro byange,
14 mangwago nandirwanyisizza abalabe baabwe,
ne mbawangula.
15 Abo abakyawa Mukama ne beegonza gy’ali;
ekibonerezo kyabwe kya mirembe gyonna.
16 Naye ggwe, Isirayiri, nandikuliisizza eŋŋaano esingira ddala obulungi,
ne nkukkusa omubisi gw’enjuki nga guva mu lwazi.”