Zabbuli 12
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
1 Tuyambe, Ayi Mukama, kubanga tewakyali n’omu amanyi Katonda;
abantu abeesigwa bonna baweddewo.
2 Buli muntu alimba munne;
akamwa kaabwe akawaana koogera bya bulimba.
3 Mukama, osirise akamwa k’abo bonna abeewaanawaana,
na buli lulimi olwenyumiriza;
4 nga boogera nti, “Tujja kuwangula n’olulimi lwaffe, era tufune byonna bye twetaaga n’akamwa kaffe,
kubanga ani alitukuba ku mukono.”
5 Mukama ayogera nti, “Olw’okujoogebwa kw’abanafu,
n’olw’okusinda kw’abali mu bwetaavu,
nnaasituka kaakano
ne nnwanirira abo abalumbibwa.”
6 Ebigambo bya Mukama bya bwesigwa era bya mazima.
Bigeraageranyizibwa n’effeeza
erongoosebbwa obulungi emirundi musanvu mu kyoto eky’ebbumba.
7 Ayi Mukama, tukwesiga ng’onootukuumanga,
n’otuwonya abantu abali ng’abo emirembe gyonna.
8 Ababi beeyisaayisa
nga bagulumiza ebitaliimu nsa.