31
Okulabula ku Kunywa Ekitamiiza
1 Ebigambo bya kabaka Lemweri bye yayogera, nnyina bye yamuyigiriza.
2 Ggwe mutabani wange, ggwe mutabani w’enda yange,
ggwe mutabani w’obweyamo bwange.
3 Tomaliranga maanyi go ku bakazi,* Abakazi aboogerwako wano be baweereza abakazi abangi ababeera mu lubiri; batabulatabula kabaka ng’akola emirimu gye
newaakubadde amaanyi go ku abo abazikiriza bakabaka.
4 Ggwe Lemweri, si kya bakabaka,
si kya bakabaka okunywanga omwenge,
so si kya balangira okwegombanga omwenge,
5 si kulwa nga bagunywa ne beerabira amateeka,
ne batalamula mu bwenkanya abantu baabwe abatulugunyizibwa.
6 Ekitamiiza mukiwenga oyo ayagala okufa,
n’omwenge oyo alina emmeeme eriko obuyinike.
7 Mumuleke anywenga yeerabire obwavu bwe,
alemenga kujjukira nate buyinike bwe.
8 Yogereranga abo abatasobola kweyogerera,
otunulenga mu nsonga z’abo bonna abaasigala ettayo.
9 Yogera olamulenga n’obwenkanya,
olwanirirenga abaavu n’abali mu bwetaavu.
Omukazi ow’Amagezi
10 Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba?
Wa muwendo nnyo okusinga amayinja ag’omuwendo ennyo.
11 Bba amwesiga n’omutima gwe gwonna,
era bba talina kyonna kya muwendo ky’abulwa.
12 Aleetera bba essanyu so tamukola kabi,
obulamu bwe bwonna.
13 Anoonya ebyoya by’endiga n’anoonya ne ppamba,
n’akola emirimu gye mu ssanyu eritayogerekeka.
14 Ali ng’ebyombo by’abasuubuzi,
aleeta emmere okuva mu nsi ezeewala.
15 Agolokoka tebunnakya,
n’awa ab’omu nnyumba ye ebyokulya,
n’agabira abaweereza be abawala be abaweereza emirimu egy’okukola.
16 Alowooza ku nnimiro n’agigula;
asimba ennimiro ey’emizabbibu n’ebibala by’emikono gye.
17 Omukazi oyo akola n’amaanyi omulimu gwe,
emikono gye gikwata n’amaanyi emirimu gye.
18 Ayiiya ebyamaguzi ebirimu amagoba n’abisuubula,
era n’ettabaaza ye ekiro tezikira.
19 Anyweza omuti oguluka ppamba mu mukono gwe,
engalo ze ne zikwata akati akalanga.
20 Ayanjululiza abaavu omukono gwe,
n’agololera omukono gwe oyo ali mu bwetaavu.
21 Mu biseera by’obutiti taba na kutya,
kubanga ab’omu nnyumba ye bonna baba n’engoye ez’okwambala.
22 Yeekolera ebibikka obuliri bwe,
era engoye ze za linena omulungi, za ffulungu.† Engoye za ffulungu zaali za bbeeyi era nga kabonero ka kikungu
23 Bba amanyibbwa,
y’omu ku bakulu abakulembera ensi, era ateeseza mu nkiiko enkulu.
24 Omukazi atunga ebyambalo ebya linena n’abitunda,
n’aguza abasuubuzi enkoba.
25 Amaanyi n’ekitiibwa bye byambalo bye,
era tatya ebiro ebigenda okujja.
26 Ayogera n’amagezi,
era ayigiriza ebyekisa.
27 Alabirira nnyo empisa z’ab’omu nnyumba ye,
era talya mmere ya bugayaavu.
28 Abaana be bagolokoka ne bamuyita wa mukisa,
ne bba n’amutendereza ng’ayogera nti,
29 “Abakazi bangi abakola eby’ekitiibwa
naye bonna ggwe obasinga.”
30 Obubalagavu bulimba n’endabika ennungi teriiko kyegasa,
naye omukazi atya Mukama anaatenderezebwanga.
31 Mumusasule empeera gy’akoleredde,
n’emirimu gye gimuweesenga ettendo ku miryango gy’ekibuga.