7
1 Ddala zinsanze nze.
Ndi ng’omuntu akungula ebibala
okuva mu bifo eby’enjawulo eby’ennimiro y’emizabbibu;
tewali kirimba kya mizabbibu kulyako,
wadde emizeeyituuni egisooka okwengera gye njagala ennyo.
2 Abantu abatya Katonda, baweddewo mu nsi;
tewali n’omu mulongoofu asigaddewo.
Bonna banoonya okuyiwa omusaayi,
buli omu anoonya okutega muganda we ekitimba.
3 Emikono gyabwe gyombi mikugu mu kukola ebibi;
omufuzi asaba ebirabo,
n’omulamuzi alya enguzi,
n’ab’amaanyi mu nsi, beekolera kye baagala
nga basala enkwe.
4 Mu abo bonna asingamu obulungi, afaanana ng’omweramannyo;
asingamu ku mazima y’asinga olukomera lw’amaggwa obubi.
Naye olunaku lw’abakuumi bammwe lutuuse,
era kino kye kiseera eky’okutabukatabuka.
5 Tewesiga muntu n’omu,
wadde mukwano gwo,
newaakubadde mukazi wo,
Weegendereze by’oyogera.
6 Kubanga omulenzi agaya kitaawe,
n’omwana alwanyisa nnyina,
muka mwana n’alwanyisa nnyazaala we.
Abalabe b’omuntu, bantu be, ab’omu nju ye bennyini.
7 Naye nze nnindirira Mukama nga nnina essuubi,
nnindirira Katonda Omulokozi wange;
Katonda wange anampulira.
8 Tonjeeyereza ggwe omulabe wange,
kubanga wadde ngudde, nnaayimuka.
Ne bwe naatuula mu kizikiza,
Mukama anaabeera ekitangaala kyange.
9 Nnaagumikirizanga Mukama bw’anaabanga ambonereza,
kubanga nnyonoonye mu maaso ge,
okutuusa lw’alimpolereza,
n’anziza buggya.
Alindeeta mu kitangaala,
era ndiraba obutuukirivu bwe.
10 Olwo omulabe wange alikiraba,
n’aswala,
oyo eyanjeeyerezanga ng’agamba nti,
“Ali ludda wa Mukama Katonda wo?”
Ndisanyuka ng’agudde,
era alirinnyirirwa ng’ebitoomi eby’omu nguudo.
11 Olunaku olw’okuzimba bbugwe wo lulituuka,
olunaku olw’okugaziya ensalo yo.
12 Mu biro ebyo abantu balijja gy’oli
nga bava mu Bwasuli ne mu bibuga by’e Misiri,
n’okuva e Misiri okutuuka ku mugga Fulaati,
n’okuva ku nnyanja emu okutuuka ku nnyanja endala,
n’okuva ku lusozi olumu okutuuka ku lusozi olulala.
13 Ensi erifuuka matongo,
olw’ebikolwa by’abantu abagibeeramu.
Okusaba n’Okutendereza
14 Lunda abantu bo n’omuggo gwo,
ekisibo kye weeroboza,
ababeera bokka mu kibira
mu malundiro amagimu.
Baleke baliire mu Basani ne Gireyaadi, nga mu biseera eby’edda.
15 Nga bwe kyali mu nnaku ze mwaviiramu mu Misiri,
nzija kubalaga ebikulu eby’ekitalo.
16 Amawanga galikiraba ne gakwatibwa ensonyi,
ne gamalibwamu amaanyi.
Abantu baago balikwata ku mimwa gyabwe
n’amatu gaabwe ne gaziba.
17 Balirya enfuufu ng’omusota,
ng’ebisolo ebyewalula.
Balifuluma obunnya bwabwe nga bakankana
ne bakyuka okudda eri Mukama Katonda waffe, ne babatya.
18 Katonda ki omulala ali nga ggwe,
asonyiwa ekibi era n’asonyiwa ebyonoono byabo
abaasigalawo ku bantu be?
Obusungu bwe tebubeerera emirembe gyonna,
naye asanyukira okusaasira.
19 Alikyuka n’atukwatirwa ekisa nate; alirinnyirira ebibi byaffe,
n’asuula ebyonoono byaffe byonna mu buziba bw’ennyanja.
20 Olikola eby’amazima bye wasuubiza Yakobo,
n’ebyekisa bye wasuubiza Ibulayimu,
nga bwe weeyama eri bajjajjaffe
okuva mu nnaku ez’edda.