34
Amawanga Gasalirwa Omusango
1 Musembere mmwe amawanga muwulirize.
Musseeyo omwoyo mmwe abantu.
Ensi ewulirize, ne byonna ebigirimu,
ensi ne byonna ebigivaamu.
2 Mukama anyiigidde amawanga gonna,
ekiruyi kye kiri ku magye gaabwe gonna.
Alibazikiririza ddala,
alibawaayo okuttibwa.
3 Abantu baabwe abattibwa balisuulibwa ebweru,
n’emirambo gyabwe giriwunya,
n’ensozi zirinnyikira omusaayi gwabwe.
4 Emmunyeenye zonna ez’omu ggulu zirisaanuuka,
n’eggulu liryezingako ng’omuzingo;
n’eggye ery’omu ggulu lirigwa,
ng’ebikoola ebiwotose ebiva ku muzabbibu,
ng’ebirimba ebyayongobera ebiva ku mutiini.
5 Weewaawo ekitala kyange kinywedde ne kijjuzibwa mu ggulu,
era laba, kikkira ku Edomu okusala omusango,
abantu be mmaliddewo ddala.
6 Ekitala kya Mukama kisaabye omusaayi,
kiriko amasavu,
omusaayi gw’abaana b’endiga n’embuzi,
amasavu agava mu nsingo za sseddume.
Mukama alina ekiweebwayo mu Bozula,
era waliyo n’okuttibwa okw’amaanyi mu Edomu.
7 Embogo zirifiira wamu nazo,
n’obute obulume, ne ziseddume zirifiira wamu nazo.
Ensi yaabwe erijjula omusaayi,
n’enfuufu erinnyikira amasavu.
8 Mukama alina olunaku olw’okuwalanirako eggwanga,
omwaka ogw’okwesasuza, olw’ensonga eya Sayuuni.
9 Emigga gya Edomu girikalira ne gifuuka bulimbo,* bulimbo kifaanana ng’ennoni
n’enfuufu ye erifuuka ng’obuwunga bwa salufa ayokya.
Ensi ye erifuuka ng’obulimbo† bulimbo kifaanana ng’ennoni obuggya omuliro.
10 Talizikizibwa emisana n’ekiro,
n’omukka gwe gulinyooka ennaku zonna.
Edomu alisigala kifulukwa emirembe n’emirembe,
era tewaliba n’omu ayita mu nsi eyo.
11 Ekiwuugulu eky’omu ddungu n’ekiwuugulu ekireekaana, birikibeeramu.
Ekiwuugulu ekinene ne namuŋŋoona birizimbamu ebisu byabyo.
Katonda aligololera ekipimo eky’okwewunika,
n’ekipimo ekinaaleka Edomu nga njereere.
12 Abakungu be tebalibaako kye bayita bwakabaka,
n’abalangira be bonna baliggwaawo.
13 Amaggwa galimera ku minaala egy’ekibuga kye,
n’emyennyango n’amatovu ne bimera mu bigo bye ebyanywezebwa.
Aliyiggibwa ebibe,
era ebiwuugulu birimufuula ekifo eky’okuwummulirangamu.
14 Ensolo ez’omu ddungu gye zirisisinkana empisi,
n’embuzi enkambwe ez’omu nsiko gye ziriramusiganyiza.
Era eyo ebisolo ebitambula ekiro nabyo biriwummula
nga byefunidde ekifo eky’okuwummulirangamu.
15 Ekiwuugulu kiribiikira eyo amagi,
ne kigaalula,
ne kirabirira abaana baakyo wansi w’ekisiikirize kyakyo.
Era eyo ne kamunye gy’alikuŋŋaanira, empanga n’enseera.
16 Tunula mu muzingo gwa Mukama osome.
Tewali na kimu ku ebyo ekiribulayo,
era ekirume kiriba n’ekikazi, n’ekikazi ne kiba n’ekirume.
Akamwa ka Mukama ke kalagidde,
era Omwoyo we yalibikuŋŋaanya.
17 Agabira buli kimu omugabo gwakyo,
era omukono gwe gubigabanyiza mu kigera.
Birikibeeramu ennaku zonna,
bibeere omwo emirembe n’emirembe.