14
Okwenenya Kuleeta Omukisa
1 Mudde eri Mukama Katonda wammwe, ggwe Isirayiri.
Ebibi byammwe bye bibaleetedde okugwa.
2 Mudde eri Mukama
nga mwogera ebigambo bino nti,
“Tusonyiwe ebibi byaffe byonna,
otwanirize n’ekisa,
bwe tutyo tunaawaayo ebibala by’akamwa kaffe, ng’ebiweebwayo eby’ente ennume.
3 Obwasuli tebusobola kutulokola;
Tetujja kwebagala mbalaasi ez’omu ntalo.
Tetuliddayo kwogera nate nti, ‘Bakatonda baffe,’
nga twogera ku bintu bye twekoledde n’emikono gyaffe,
kubanga mu ggwe, bamulekwa mwe bajja okusaasirwa.”
4 Ndibalekesaayo empisa zaabwe embi,
ne mbaagala awatali kye mbasalidde kya kusasula.
Kubanga obusungu bwange butanudde okubavaako.
5 Ndifaanana ng’omusulo eri Isirayiri:
alimulisa ng’eddanga,
era alisimba emirandira ng’emivule gy’e Lebanooni.
6 Amatabi ge amato galikula;
n’obulungi bwe buliba ng’omuzeyituuni,
n’akaloosa ke kaliba ng’akaloosa k’omuvule gw’e Lebanooni.
7 Abantu balibeera nate wansi w’ekisiikirize kye,
era alibala ng’emmere ey’empeke.
Alimulisa ng’omuzabbibu,
era alyatiikirira nga wayini ow’e Lebanooni.
8 Ggwe Efulayimu mugabo ki gwe nnina mu bakatonda bo?
Ndimwanukula ne mulabirira.
Nninga omuberosi omugimu, era n’ebibala byo biva mu nze.
9 Abalina amagezi bategeera ensonga zino,
era abakabakaba balibimanya.
Amakuba ga Mukama matuufu,
n’abatuukirivu bagatambuliramu,
naye abajeemu bageesittaliramu.