17
Yekosafaati Kabaka wa Yuda
1 Yekosafaati mutabani wa Asa n’asikira Asa bw’atyo n’afuuka kabaka, n’okwenyweza ne yeenyweza eri Isirayiri. 2 N’ateeka abaserikale mu bibuga ebiriko bbugwe ebya Yuda, n’ateeka n’eggye mu Yuda, ne mu bibuga ebya Efulayimu, kitaawe Asa bye yali awambye.
3 Mukama n’abeera wamu ne Yekosafaati kubanga mu buto bwe yatambuliranga mu makubo ga jjajjaawe Dawudi ge yatambulirangamu. Teyeebuuza ku Babaali, 4 naye yanoonya Katonda wa kitaawe, era n’agoberera amateeka ge okusinga engeri za Isirayiri. 5 Mukama n’anyweza obwakabaka mu mukono gwe, era Yuda yenna ne baleetera Yekosafaati ebirabo, n’aba n’obugagga bungi n’ekitiibwa kinene. 6 Omutima gwe ne gunywerera mu kkubo lya Mukama, n’okuggyawo n’aggyawo ebifo ebigulumivu n’ebifaananyi bya Baasera mu Yuda.
7 Mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwe, n’atuma abakungu be bano: Benikayiri, ne Obadiya, ne Zekkaliya, ne Nesaneeri, ne Mikaaya okugenda nga bayigiriza mu bibuga bya Yuda. 8 Ne wabaawo n’Abaleevi abagenda nabo: Semaaya, ne Nesaniya, ne Zebadiya, ne Asakeri, ne Semiramoosi, ne Yekonasaani, ne Adoniya, ne Tobbiya, ne Tobadoniya, wamu ne Erisaama ne Yekolaamu. 9 Ne bayigiriza mu Yuda yonna, nga bakozesa Ekitabo ekya Mateeka ga Mukama; ne babuna mu bibuga byonna ebya Yuda ne bayigiriza abantu.
10 Awo entiisa ya Mukama n’egwa ku bwakabaka obw’amawanga agaali geetoolodde Yuda, ne batakola ntalo na Yekosafaati. 11 Abamu ku Bafirisuuti ne baleetera Yekosafaati ebirabo, ne ffeeza ng’omusolo, ate Abawalabu ne bamuleetera ebisibo eby’endiga ennume kasanvu mu lusanvu, n’embuzi kasanvu mu lusanvu. 12 Yekosafaati ne yeeyongeranga amaanyi, n’azimba ebigo n’ebibuga eby’amaterekero mu Yuda, 13 n’abeera n’ebyamaguzi bingi ddala mu bibuga bya Yuda. Yalina n’abaserikale abatendeke mu Yerusaalemi nga bazira. 14 Okubalibwa ng’enju za bakitaabwe bwe zaali kwali bwe kuti:
Okuva mu Yuda, abaduumizi ab’ebibinja eby’olukumi (1,000) baali:
Aduna omuduumizi ow’abasajja abalwanyi emitwalo amakumi asatu (300,000),
15 n’eyamuddiriranga yali Yekokanani omuduumizi ow’abasajja emitwalo amakumi abiri mu munaana (280,000);
16 n’eyamuddiriranga yali Amasiya mutabani wa Zikuli, eyeewaayo obwebange okuweerezanga Mukama, omuduumizi ow’abasajja emitwalo amakumi abiri (200,000).
17 Okuva mu Benyamini:
Eriyada, omuserikale omuzira, eyaduumiranga abasajja ab’obusaale n’engabo emitwalo amakumi abiri (200,000),
18 n’eyamuddiriranga ye yali Yekozabadi eyaduumiranga abasajja emitwalo kkumi na munaana abaali beeteeseteese okulwana (180,000).
19 Abo be basajja abaaweerezanga kabaka, obutassaako abo abaali mu bibuga ebyaliko bbugwe n’ebigo okubuna Yuda yonna.