27
Ebibinja eby’Eggye
1 Luno lwe lukalala lw’Abayisirayiri emitwe gy’ennyumba, abaduumizi b’olukumi, n’abaduumizi b’ekikumi abaaweerezanga kabaka nga bamutegeeza buli nsonga eyakwatanga ku bibinja eby’eggye, ebyabeeranga ku mpalo buli mwezi mu mwaka. Buli kibinja kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
2 Yasobeyamu mutabani wa Zabudyeri ye yavunaanyizibwanga ekibinja ekisooka, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. 3 Yali muzzukulu wa Perezi, ate nga mukulu w’abaami b’eggye mu mwezi ogwasooka
4 Dodayi Omwakowa ye yavunaanyizibwanga ekibinja eky’omwezi ogwokubiri nga Mikuloosi ye mukulu ow’ekibinja ekyo. Mwalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya mu kibinja ekyo.
5 Benaya mutabani wa Yekoyaada kabona ye yali omuduumizi ow’eggye owookusatu mu mwezi gwokusatu, era yali mwami. Kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. 6 Oyo ye Benaya eyali omusajja ow’amaanyi mu bali amakumi asatu, era nga ye mukulu mu bo. Mutabani we Ammizabaadi yavunaanyizibwanga ekibinja ekyo.
7 Asakeri muganda wa Yowaabu ye yavunaanyizibwanga ekibinja ekyokuna mu mwezi ogwokuna, era mutabani we Zebadiya ye yamusikira. Ekibinja ekyo kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
8 Samukusi Omuyizula ye yali omuduumizi ow’ekibinja ekyokutaano mu mwezi ogwokutaano, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
9 Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omukaaga mu mwezi ogw’omukaaga, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
10 Kerezi Omuperoni, ate nga muzzukulu wa Efulayimu ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omusanvu mu mwezi ogw’omusanvu, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
11 Seibbekayi Omukusasi, ate nga wa ku Bazera ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omunaana mu mwezi ogw’omunaana, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
12 Abiyezeeri Omwanasosi, ate nga wa ku Babenyamini ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omwenda mu mwezi ogw’omwenda, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
13 Makalayi Omunetofa, ate nga wa ku Bazera ye yali omukulu ow’ekibinja eky’ekkumi mu mwezi ogw’ekkumi, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
14 Benaya Omupirasoni, ate nga muzzukulu wa Efulayimu ye yali omukulu ow’ekibinja eky’ekkumi n’omu mu mwezi ogw’ekkumi n’ogumu, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
15 Kerudayi Omwetofa, ow’omu nnyumba ya Osuniyeri, ye yali omukulu ow’ekibinja eky’ekkumi n’ababiri mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
Abataka ab’Ebika
16 Abataka ab’ebika bya Isirayiri baali:
eyafuganga Abalewubeeni yali Eryeza mutabani wa Zikuli;
eyafuganga Abasimyoni yali Sefatiya mutabani wa Maaka;
17 eyafuganga Leevi yali Kasabiya mutabani wa Kemweri;
eyafuganga Alooni yali Zadooki;
18 eyafuganga Yuda yali Eriku, omu ku baganda ba Dawudi;
eyafuganga Isakaali yali Omuli mutabani wa Mikayiri;
19 eyafuganga Zebbulooni yali Isumaaya mutabani wa Obadiya;
eyafuganga Nafutaali yali Yeremozi mutabani wa Azulyeri;
20 eyafuganga Abefulayimu yali Koseya mutabani wa Azaziya;
eyafuganga ekitundu ky’ekika kya Manase yali Yoweeri mutabani wa Pedaya;
21 eyafuganga ekitundu ky’ekika kya Manase ekirala ekyabeeranga mu Gireyaadi yali Iddo mutabani wa Zekkaliya;
eyafuganga Benyamini yali Yaasiyeri mutabani wa abuneeri;
22 n’eyafuganga Ddaani yali Azaleri mutabani wa Yerokamu.
Abo be baali abataka abaakuliranga ebika bya Isirayiri.
23 Dawudi teyabala muwendo ogw’abasajja abaali abaakamaze emyaka abiri n’abaali tebanaba kugituusa, kubanga Mukama yali asuubiza okufuula Abayisirayiri abangi ng’emmunyeenye ez’omu ggulu. 24 Naye Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n’atandika okubala abasajja, n’atamaliriza. Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Isirayiri olw’okubala okwo, so n’omuwendo ogwo tegwawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya kabaka Dawudi.
Abalabirizi ba Kabaka
25 Azumavesi mutabani wa Adyeri yavunaanyizibwanga amawanika ga kabaka,
ne Yonasaani mutabani wa Uzziya n’avunaanyizibwanga amawanika ag’amasaza n’ag’ebibuga, ag’ebyalo, n’ag’ebigo.
26 Ezuli mutabani wa Kerubu ye yavunaanyizibwanga abalimi ab’omu nnimiro.
27 Simeeyi Omulaama ye yavunaanyizibwanga ennimiro z’emizabbibu,
ne Zabudi Omusifumu ye n’avunaanyizibwanga ebibala eby’ennimiro olw’amasenero ag’omwenge.
28 Baalukanani Omugedera ye yavunaanyizibwanga emizeeyituuni n’emisukomooli egyali mu nsenyi ez’ebugwanjuba;
ne Yowaasi ye n’avunaanyizibwanga amawanika g’amafuta.
29 Situlayi Omusaloni ye yavunaanyizibwanga ebisibo mu Saloni,
ne Safati mutabani wa Adulayi n’avunaanyizibwanga ebisibo ebyali mu biwonvu.
30 Obiri Omuyisimayiri ye yavunaanyizibwanga eŋŋamira,
ne Yedeya Omumeronoosi ye n’avunaanyizibwanga endogoyi.
31 Yazizi Omukaguli ye yavunaanyizibwanga ebisibo eby’endiga.
Abo bonna be baali abakungu ba kabaka Dawudi abaavunaanyizibwanga ebintu bye.
32 Yonasaani, kitaawe wa Dawudi omuto yali muteesa wa bigambo, era nga musajja mutegeevu omuwandiisi,
ne Yekyeri mutabani wa Kakumoni ye yali mukuza w’abalangira.
33 Akisoferi naye yali muteesa wa kabaka,
ate nga Kusaayi Omwaluki ye mukwano gwa kabaka nnyo.
34 Yekoyaada mutabani wa Benaya ne Abiyasaali be badda mu bigere bya Akisoferi.
Yowaabu ye yali muduumizi w’eggye lya kabaka.