9
Ebika Ebyava mu Buwaŋŋanguse mu Babulooni
Eggwanga lyonna erya Isirayiri lyabalibwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali era ne bawandiikibwa mu kitabo ky’ebyafaayo bya bassekabaka ba Isirayiri. Olw’okukola ebibi mu maaso ga Mukama, abantu ba Yuda nabo baatwalibwa mu buwaŋŋanguse. Abaasooka okubeera ewaabwe mu bibuga byabwe be baali Abayisirayiri abamu, ne bakabona, n’Abaleevi, n’abalala abaaweerezanga mu yeekaalu.
Abamu ku abo abaabeeranga mu Yerusaalemi nga bava mu Yuda, ne Benyamini, ne Efulayimu ne Manase baali:
Usayi mutabani wa Ammikudi, muzzukulu wa Omuli, muzzukulu wa Imuli, muzzukulu wa Bani, muzzukulu wa Pereezi, mutabani wa Yuda.
Ku Basiiro,
Asaya omuggulanda mu nnyumba ye, wamu ne batabani be.
Ku bazzukulu ba Zeera,
Yeweri n’ab’omu kika kye okuva mu Yuda abantu lukaaga mu kyenda.
 
Ku bazzukulu ba Benyamini,
Sallu mutabani wa Mesullamu, muzzukulu wa Kodaviya, muzzukulu wa Kassenuwa,
ne Ibuneya mutabani wa Yerokamu,
ne Era mutabani wa Uzzi, muzzukulu wa Mikuli,
ne Mesullamu mutabani wa Sefatiya, muzzukulu wa Leweri, muzzukulu wa Ibuniya.
Abantu b’omu kika kya Benyamini, baali bawera lwenda mu ataano mu mukaaga, ate nga bonna bakulu ba nda zaabwe.
 
10 Ku bakabona abaakomawo kwaliko
Yedaya, ne Yekoyalibu, ne Yakini,
11 ne Azaliya mutabani wa Kirukiya, muzzukulu wa Mesullamu, muzzukulu wa Zadooki, muzzukulu wa Merayoosi, muzzukulu wa Akituubu, omukulu eyavunaanyizibwanga ennyumba ya Katonda;
12 ne Adaaya mutabani wa Yerokamu, muzzukulu wa Pasukuli, muzzukulu wa Malukiya, ne Maasayi mutabani wa Adyeri, muzzukulu wa Yazera, muzzukulu wa Mesullamu, muzzukulu wa Mesiremisi, muzzukulu wa Immeri.
13 Bakabona abaali abakulu b’enda zaabwe baali lukumi mu lusanvu mu nkaaga. Baali basajja babuvunaanyizibwa mu buweereza bwabwe mu nnyumba ya Katonda.
 
14 Ku baleevi kwaliko:
Semaaya mutabani wa Kassubu, muzzukulu wa Azulikamu, muzzukulu wa Kasabiya, omu ku b’enda ya Merali,
15 ne Bakubakkali, ne Keresi, ne Galali ne Mattaniya mutabani wa Mikka, muzzukulu wa Zikuli, muzzukulu wa Asafu,
16 ne Obadiya mutabani wa Semaaya, muzzukulu wa Galali, muzzukulu wa Yedusuni;
ne Berekiya mutabani wa Asa, muzzukulu wa Erukaana, eyabeeranga mu byalo eby’Abanetofa.
 
17 Abaggazi ba wankaaki baali,
Sallumu, ne Akabu, ne Talumoni, ne Akimaani ne baganda baabwe abalala, era mukulu waabwe ye yali Sallumu; 18 be baayimiriranga ku ludda olw’ebuvanjuba olwa wankaaki ya Kabaka, era gwe mulimu gwabwe n’okutuusa leero. Abo be baali abaggazi ab’omu kika ky’Abaleevi.
19 Sallumu yali mutabani wa Koole, muzzukulu wa Ebiyasaafu, muzzukulu wa Koola, ne ab’omu nnyumba ya kitaawe be baavunaanyizibwanga okukuuma enzigi za yeekaalu nga bajjajjaabwe nabo bwe baavunaanyizibwanga omulyango gw’ekifo Mukama gy’abeera.
20 Finekaasi mutabani wa Eriyazaali ye yakuliranga abaggazi mu biro eby’edda, era Mukama n’abeeranga wamu naye.
21 Zekkaliya mutabani wa Meseremiya ye yali omuggazi ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
22 Bonna awamu, abaalondebwa okuba abaggazi b’emiryango baali bibiri mu kkumi na babiri, era baali baawandiikibwa mu byalo byabwe ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali.
 
Dawudi ne nnabbi Samwiri be bayawula emirimu gy’abaggazi nga bwe gyali. 23 Bo ne bazzukulu baabwe, be baavunaanyizibwanga okukuuma enzigi z’ennyumba ya Mukama, ennyumba eyayitibwanga Eweema. 24 Abaggazi baabeeranga ku njuyi ennya, olw’ebuvanjuba, olw’ebugwanjuba, olw’obukiikakkono, n’olwobukiikaddyo, 25 era baganda baabwe okuva mu byalo byabwe, bajjanga mu mpalo ne bakumanga okumala ebbanga kya nnaku musanvu. 26 Abaggazi abana, abaali Abaleevi, be baaweebwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga ebisenge eby’omunda n’amawanika ag’omu nnyumba ya Katonda. 27 Baasulanga okuliraana ne nnyumba ya Katonda kubanga be baagikuumanga, era nga buli nkya be bavunaanyizibwa okugiggalawo.
28 Abamu ku bo baavunaanyizibwanga okukuuma ebintu ebyakozesebwanga mu kuweereza mu yeekaalu, era nga be babala ennyingiza yaabyo ne nfulumya yaabyo. 29 Abalala baavunaanyizibwanga okulabirira ebikozesebwa mu mirimu n’ebintu byonna eby’omu watukuvu, era nga be bavunaanyizibwa okulabirira obutta obulungi, n’omwenge, n’amafuta, n’omugavu, n’ebyakaloosa. 30 Wabula abamu ku bakabona baategekanga byakaloosa. 31 Mattisiya mutabani wa Sallumu Omukoola, ate nga y’omu ku Baleevi, ye yavunaanyizibwanga okufumba emigaati gy’ebiweebwayo, 32 era abamu ku baganda b’Abakokasi baavunaanyizibwanga okussanga emigaati egya buli ssabbiiti ku mmeeza.
33 Abayimbi, abakulu b’ekika ky’Abaleevi baasulanga mu bisenge eby’omunda wa Yeekaalu, era nga tebakola mulimu mulala gwonna emisana n’ekiro okuggyako ogwo ogwabwe omutongole.
34 Abo bonna baali bakulu b’enda ez’Abaleevi, nga bwe baawandiikibwa mu kuzaalibwa kwabwe, era baabeeranga mu Yerusaalemi.
Enda ya Sawulo
35 Yeyeri kitaawe wa Gibyoni era yatulanga mu Gibyoni,
n’erinnya lya mukyala we nga ye Maaka, 36 ne mutabani waabwe omuggulanda yali Abudoni, Zuuli n’amuddirira, Kiisi n’addako, Baali n’addako, Neeri n’addako, Nadabu n’addako, 37 ne Gedoli n’addako, Akiyo n’addako, Zekkaliya n’addako, Mikuloosi n’asembayo. 38 Mikuloosi yazaala Simyamu, era nabo baabeeranga kumpi ne baganda baabwe mu Yerusaalemi.
39 Neeri n’azaala Kiisi, Kiisi n’azaala Sawulo. Sawulo n’azaala Yonasaani, ne Malukisuwa, ne Abinadaabu ne Esubaali.
40 Mutabani wa Yonasaani ye yali
Meribubaali, ne Meribubaali n’azaala Mikka.
41 Batabani ba Mikka baali
Pisoni, ne Mereki, ne Taleya ne Akazi.
42 Akazi n’azaala Yala, Yala n’azaala Alemesi, ne Azumavesi ne Zimuli, ate Zimuli n’azaala Moza. 43 Moza n’azaala Bineya, Bineya n’azaala Lefaya, Lefaya n’azaala Ereyaasa, Ereyaasa n’azaala Azeri.
44 Azeri yalina batabani be mukaaga, era gano ge gaali amannya gaabwe:
Azulikamu, ne Bokeru, ne Isimayiri, ne Seyaliya, ne Obadiya, ne Kanani.